[RSS] Aba ONC e Mukono beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka

Post Reply
User avatar
RSS
Bots
Bots
Posts: 34100
Joined: Wed Aug 10, 2016 12:51 am
First Name: RSS FeedBot
Canada

[RSS] Aba ONC e Mukono beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka

Post by RSS »


ABAKULIRA offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM ONC mu Greater Mukono beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II egibadde egibadde ku Gombolola ya Mituba 4 Kauga mu Ssaza lye Kyaggwe.


Image


Emisinde gino gisimbuddwa Musajja wa Kabaka atwala e Gombolola eno Charles Matovu era nga abakulembeze ab’enjawulo bajetabyemu.

Offiisi ya sentebe we kibiina kya NRM mu Greater Mukono ekiikiriddwa Nasuuna Julie, Mulamira Gashegu, Semuddu Ivan nabalala bangi.


Image


Bwabadde ayogerako ne bannamawulire Ivan Semuddu agambye nti nag ONC nabo babadde tebasobola kusigala bbali nga Kabaka wa Buganda ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 68.

Agambye nti nga offiisi baalagiddwa omuyambi wa Pulezidenti Hajjat Hadijjah Namyalo okwetaba mu ntekateeka ye misinde mubuna byalo olw’ekigendererwa Kabaka Mutebi ne Pulezidenti Museveni kye baliko eky’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.


Image


Julie Nasuuna ayozayozezza Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 68, nasaba abantu okwekebeza obulwadde bwa mukenenya nabali ku ddagala okulikozesa obulungi

The post Aba ONC e Mukono beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka appeared first on Watchdog Uganda.


Source: https://www.watchdoguganda.com/news/pol ... abaka.html

Return to “Uganda”